Isaiah 32

Obwakabaka obw’Obutuukirivu

1 aLaba, Kabaka alifuga mu butuukirivu,
n’abafuzi balifuga mu bwenkanya.
2 bBuli muntu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu empewo,
ng’ekiddukiro okuva eri kibuyaga,
ng’emigga gy’amazzi mu ddungu,
ng’ekisiikirize eky’olwazi olunene mu nsi ey’ennyonta.

3 cOlwo amaaso gaabo abalaba tegaliziba,
n’amatu g’abo abawulira galiwuliriza.
4 dOmutima gw’abatali bagumiikiriza gulimanya era gulitegeera,
n’olulimi olw’abanaanaagira lulitereera ne boogera bulungi.
5 eOmusirusiru taliddayo kuyitibwa wa kitiibwa,
newaakubadde omuntu omwonoonyi okuteekebwamu ekitiibwa.
6 fOmusirusiru ayogera bya busirusiru,
n’omutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu.
Akola eby’obutatya Katonda,
era ayogera bya bulimba ku Mukama,
n’abayala abaleka tebalina kintu,
n’abalumwa ennyonta abamma amazzi.
7 gEmpisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu.
8 hNaye omuntu ow’ekitiibwa akola entegeka za kitiibwa,
era ku bikolwa bye eby’ekitiibwa kw’anywerera.
9 iMmwe abakazi abateefiirayo,
mugolokoke muwulirize eddoboozi lyange;
mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu,
muwulire bye ŋŋamba.
10 jMu mwaka gumu oba n’okusingawo,
mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya,
amakungula g’emizabbibu galifa,
n’amakungula g’ebibala tegalijja.
11 kMutye mmwe abakazi abateefiirayo,
mukankane mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu.
Muggyeko engoye zammwe,
mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.
12 lMunakuwalire ennimiro ezaali zisanyusa,
olw’emizabbibu egyabalanga,
13 mn’olw’ensi ey’abantu bange,
ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti.
Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu,
na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu.
14 nWeewaawo ekigo kirirekebwawo,
ekibuga ekirimu oluyoogaano kirifuuka kifulukwa.
Ebigo n’eminaala birifuuka ebitagasa ennaku zonna,
ekifo ekisanyusa endogoyi, eddundiro ly’ebisibo,
15 ookutuusa Omwoyo lw’alitufukibwako okuva waggulu,
n’eddungu ne lifuuka ennimiro engimu,
n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira.
16Obwenkanya bulituula mu ddungu,
n’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu.
17 pEkibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe,
n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna.
18 qAbantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe,
mu maka amateefu
mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa.
19 rOmuzira ne bwe guligwa ne gukuba ekibira okukimalawo,
n’ekibuga ne kiggirwawo ddala,
20 sggwe oliraba omukisa,
ng’osiga ensigo y’oku migga gyonna,
n’ente zo n’endogoyi zo ne zirya nga zeeyagala.
Copyright information for LugEEEE